Isaiah 54:6-8

6 aKubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
bw’ayogera Katonda wo.
7 b“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 cObusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Copyright information for LugEEEE